Zechariah 12:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo, Omukama y'agamba, buli mbalaasi ndigireetera okusattira, n'omwebagazi waayo ndimusuula eddalu. Eriiso lyange ndirissa ku Yuda, naye embalaasi zonna ez'amawanga ndiziziba amaaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, ndikuba buli mbalaasi na buli muvuzi waayo ndimusuula eddalu. Ndikuuma ennyumba ya Yuda kyokka amaaso g’embalaasi za bannaggwanga ndigaziba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndisamaaliriza buli mbalaasi, n'oyo agyebagadde ndimulalusa: ndizibula amaaso gange ku nnyumba ya Yuda, era ndiziba amaaso ga buli mbalaasi y'amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, nditiisa embalaasi zaabwe zonna, n'abazeebagala bonna ndibasuula eddalu. Ndirabirira abantu b'omu Buyudaaya, naye ndiziba amaaso g'embalaasi z'abalabe baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndisamaaliriza buli mbalaasi, n'oyo agyebagadde ndimulalusa: ndizibula amaaso gange ku nnyumba ya Yuda, era ndiziba amaaso ga buli mbalaasi y'amawanga.