Zechariah 12:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo abafuzi bonna mu Yuda baligamba mu mitima gyabwe nti: ‘Abantu b'omu Yeruzaalemu ba maanyi kubanga Omukama w'Amagye ye Katonda waabwe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakulembeze ba Yuda baligamba mu mitima gyabwe nti, ‘Abantu b’omu Yerusaalemi ba maanyi, kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye Katonda waabwe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaami ba Yuda balyogera mu mutima gwabwe nti,‘ Abali mu Yerusaalemi ba maanyi, kubanga Mukama w'eggye Katonda waabwe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ebika ebiri mu Buyudaaya birigambagana nti: ‘Mukama Katonda Nnannyinimagye, awa abatuuze b'omu Buyudaaya amaanyi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaami ba Yuda balyogera mu mutima gwabwe nti Abali mu Yerusaalemi ge maanyi gange mu Mukama w'eggye Katonda waabwe.