Zechariah 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku lunaku olwo ndifuula abafuzi ba Yuda ng'entamu eyengeredde ku nku, ng'ekitawuliro mu binywa by'essubi; balivaabira abantu bonna abeetooloddewo ku ddyo ne ku kkono, naye Yeruzaalemu kirisigala kikkalidde mu kifo kyakyo mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olwo ndifuula abakulembeze ya Yuda ng’ogusigiri ogwaka ogwetooloddwa enku, ng’olumuli olw’omuliro mu makkati g’ebinywa. Balimalawo amawanga gonna ag’oku njuyi zonna, olw’oku kkono n’olw’oku ddyo; naye Yerusaalemi kirisigalawo, n’abantu baakyo mu kifo kyakyo awatali kunyeenyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli ndifuula abaami ba Yuda ng'olubumbiro oluliko omuliro wakati mu kibira, era ng'omumuli ogw'omuliro oguli mu binywa by'eŋŋaano; nabo balimalawo amawanga gonna enjuyi zonna, ku mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono, oliboolyawo Yerusaalemi kirisigalawo, mu kifo kyakyo, mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu kiseera ekyo, ebika ebiri mu Buyudaaya ndibifuula ng'omuliro ogukoleezeddwa ku kibira, oba ku binywa by'eŋŋaano. Ebika ebyo birisaanyaawo amawanga gonna agabyetoolodde. Abantu b'omu Yerusaalemu balikibeeramu mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli ndifuula abaami ba Yuda ng'olubumbiro oluliko omuliro oluli mu nku, era ng'omumuli ogw'omuliro oguli mu binywa by'eŋŋaano; nabo balimalawo amawanga gonna enjuyi zonna, ku mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono: oliboolyawo Yerusaalemi kiribaawo nate mu kifo kyakyo, mu Yerusaalemi.