Zechariah 12:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alisooka kuwonya weema za Yuda, ekitiibwa ky'ennyumba ya Dawudi n'ekitiibwa ky'abasula mu Yeruzaalemu bireme kuyisa Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama alisooka kununula weema za Yuda, ekitiibwa ky’ennyumba ya Dawudi, n’ekitiibwa ky’abatuuze b’omu Yerusaalemi kireme kusukka ku kya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama alisooka okulokola eweema za Yuda, ekitiibwa ky'ennyumba ya Dawudi n'ekitiibwa ky'abo abali mu Yerusaalemi kireme okugulumira okusinga Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze Mukama, ndisooka kuwa ggye lya Buyudaaya obuwanguzi, ekitiibwa bazzukulu ba Dawudi n'abantu b'omu Yerusaalemu kye balifuna, kireme kusinga ekyo abalala ab'omu Buyudaaya kye balifuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alisooka okulokola eweema za Yuda, ekitiibwa ky'ennyumba ya Dawudi n'ekitiibwa ky'abo abali mu Yerusaalemi kireme okugulumira okusinga Yuda.