Zechariah 13:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku olwo walibaawo oluzzi oluliggulibwa olw'ennyumba ya Dawudi ne bonna abasula mu Yeruzaalemu okubanaazaako ebibi byabwe n'obujama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olwo ensulo z’amazzi ziriggulirwa ennyumba ya Dawudi n’abatuuze b’omu Yerusaalemi okubatukuza okuva mu kibi n’obutali bulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ku lunaku luli oluzzi luliggulirwa ennyumba ya Dawudi n'abo abali mu Yerusaalemi okubatukuza mu ebibi n'obutali butuukirivu bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, oluzzi luliggulibwawo okutukuza bazzukulu ba Dawudi n'abantu b'omu Yerusaalemu, banaazibweko ebibi byabwe, era n'obwonoonefu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli oluzzi luliggulirwa ennyumba ya Dawudi n'abo abali mu Yerusaalemi olw'ebibi n'olw'empitambi.