Zechariah 13:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku olwo, Omukama w'Amagye y'agamba, ndikomya amannya g'ebifaananyi bya balubaale okuva mu nsi, era tegagenda kuddayo kujjukirwa n'akamu. Era mu nsi ndimalamu abalanzi n'omwoyo omugwagwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndiggyamu amannya ag'ebifaananyi mu nsi, so tegalijjukirwa nate, era ate ndigya mu nsi bannabbi n'omwoyo ogutali mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Mu kiseera ekyo, ndiggyawo mu nsi eyo amannya g'ebyo bye basinza ebitali Katonda, era tegaliddayo kujjukirwa. Era ndiggyawo mu nsi abalanzi, n'omwoyo ogutali mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama w'eggye, ndiggyamu amannya ag'ebifaananyi mu nsi, so tegalijjukirwa nate: era ate ndiviisa mu nsi bannabbi n'omwoyo ogutali mulongoofu.