Zechariah 13:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe walibaawo akyalanga, kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti: ‘Ojja kufa, kubanga oyogera bya bulimba mu linnya ly'Omukama.’ Bw'aliranga, kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka omuntu yenna bwa lyefuula nnabbi, kale kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti, ‘Oteekwa kufa kubanga oyogera eby'obulimba mu linnya lya Mukama.’ Awo kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita ng'alagula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe walibaawo akyayagala okulanga, kitaawe ne nnyina balimugamba nti ateekwa okuttibwa, kubanga agamba nti ayogera mu linnya lya Mukama, sso ng'alimba. Bw'aliragula, kitaawe ne nnyina bennyini balimufumita ne bamutta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituula omuntu ng'akyagenda okulagula kale kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti Tolibeera mulamu; kubanga oyogerera obulimba mu linnya lya Mukama: awo kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita bw'alagula.