Zechariah 13:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo, buli mulanzi aliswala olw'eby'alabikirwa; talyessaako munagiro gwa byoya abalimberimbe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ku lunaku luli buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw'okwolesebwa kwe okw'obulimba; so tebalyambala kyambalo kyabwe eky'ebyoya okulimba abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli mulanzi alikwatibwa ensonyi olw'okulabikirwa kwe era n'okulanga. Talyambala munagiro gwe okulimba abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku luli bannabbi balikwatirwa ensonyi buli muntu okwolesebwa kwe ng'alagula; so tebalyambala kyambalo eky'ebyoya balyoke balimbe: