Zechariah 13:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula aligamba nti ‘Nze siri mulanzi, ndi musajja mulimi, kubanga ettaka kye kyampeebwa okuva mu buvubuka bwange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aligamba nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi bulimi; era mu nnimiro mwe nkoledde emirimu gyange obulamu bwange bwonna.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye alyogera nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka, kubanga ettaka kye ky'obugagga bwange okuva mu buto bwange.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye aligamba nti: ‘Nze siri mulanzi. Ndi mulimi. Ettaka bwe bugagga bwange okuva mu buto bwange.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye alyogera nti Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka nze; kubanga bantunda okuva mu buto bwange.