Zechariah 13:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe balimubuuza nti: ‘Ate bino ebiwundu mu kifuba kyo?’ agenda kubaddamu nti: ‘Bino ebiwundu nabifunira eyo mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo bya ki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu n’abifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omu bw'alimubuuza nti, ‘Ebiwundu ebiri ku mubiri gwo byaki?’ Awo aliddamu nti, ‘Nnabifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe walibaawo amubuuza nti: ‘Ebiwundu ebyo ebiri mu bibatu byaki?’ Aliddamu nti: ‘Nabifumitibwa mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omu alimugamba nti Ebiwundu ebiri wakati w'emikono gyo biki? Awo aliddamu nti Bye nnafumitirwa mu nnyumba ya mikwano gyange.