Zechariah 13:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zuukuka, ggwe ekitala, situkira mu musumba wange, ne mu musajja anninaanye!” Omukama w'Amagye y'agamba. “Kuba omusumba endiga zibune emiwabo, nange omukono gwange nzija kugukyukiza ku bato.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Zuukuka, ggwe ekitala olwanyise omusumba wange, olwane n’omusajja annyimirira ku lusegere,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. “Kuba omusumba endiga zisaasaane nange ndiyimusa omukono gwange ku baana abato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Golokoka, ggwe ekitala, okulwana n'omusumba wange, olwane n'omusajja annyimirira ku lusegere,” bw'ayogera Mukama w'eggye, tema omusumba, n'endiga zirisaasaana; nange ndissaako omukono gwange ku bato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Situka ggwe ekitala olwanyise omusumba wange, ali ku lusegere lwange. Tema omusumba endiga zisaasaane. Ndigololera omukono gwange ku bato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Golokoka, ggwe ekitala, okulwana n'omusumba wange, n'omuntu, ye munnange, bw'ayogera Mukama w'eggye: tema omusumba n'endiga zirisaasaana; nange ndissaako omukono gwange ku bato.