Zechariah 13:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyokusatu kino ndikiyisa mu muliro, ndibatukuza nga ffeeza bw'atukuzibwa, ndibageza nga zaabu bw'agezebwa. Balikoowoola erinnya lyange, nange ndibaanukula. Ndigamba nti: ‘Bano bantu bange,’ nabo baligamba nti: ‘Omukama ye Katonda wange.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro, ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa. Balikoowoola erinnya lyange nange ndibaanukula. Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’ era nabo baliddamu nti, ‘ Mukama ye Katonda waffe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro, era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa, era ndi bakema nga zaabu bw'ekemebwa; balikaabirira erinnya lyange, nange ndibawulira; ndyogera nti, ‘Be bantu bange;’ nabo balyogera nti, ‘Mukama ye Katonda wange.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndigeza ekimu ekyokusatu ekyo, ne mbatukuza nga ffeeza bw'atukuzibwa mu muliro. Ndibageza nga zaabu bw'agezebwa. Olwo balinsaba ne mbaddamu. Ndibategeeza nti bantu bange, nabo ne baatula nti: ‘Mukama ye Katonda waffe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro, era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa, era ndibakema nga zaabu bw'ekemebwa: balikaabirira erinnya lyange, nange ndibawulira: ndyogera nti Be bantu bange; nabo balyogera nti Mukama ye Katonda wange.