Zechariah 14:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi yonna erifuuka lusenyi okuva e Geba okutuuka e Rimmoni mu maserengeta ga Yeruzaalemu. Naye kyo Yeruzaalemu kirisigala waggulu mu kifo kye okuva mu Mulyango gwa Benyamiini okutuuka ku kifo awali Omulyango Ogusooka, n'okutuuka ku Mulyango gw'Ensonda, n'okuva ku Munaala gwa Kananeli okutuuka ku masogolero ga kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi yonna erikyuka eriba nga Alaba, okuva mu Geba okutuuka ku Limmoni ku luuyi olw'obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; era kiriyimuka kiribeera mu kifo kyakyo, okuva ku mulyango gwa Benyamini okutuuka ku kifo eky'omulyango ogwolubereberye, ku mulyango ogw'ensonda; n'okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu kyonna okuva e Geba okutuuka e Rimmoni mu bukiikaddyo obwa Yerusaalemu kirifuulibwa kya museetwe. Yerusaalemu kiritumbiira ng'omunaala mu nsi ekyetoolodde. Ekibuga kiritandikira ku Mulyango gwa Benyamiini okutuuka ku Mulyango ogw'omu Nsonda, awaali omulyango ogwasooka, era okuva ku Munaala gwa Hananeeli, okutuuka ku masogolero g'emizabbibu aga kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi yonna erikyuka eriba nga Alaba, okuva mu Geba okutuuka ku Limmoni ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo obwa Yerusaalemi; era kiriyimuka kiribeera mu kifo kyakyo, okuva ku mulyango gwa Benyamini okutuuka ku kifo eky'omulyango ogw'olubereberye, ku mulyango ogw'ensonda; n'okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka.