Zechariah 14:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye kibonerezo Omukama ky'alissa ku mawanga gonna agaalwanyisa Yeruzaalemu: Emibiri gyabwe girivunda ng'eno bakyayimiridde ku magulu gaabwe, n'amaaso gaabwe galivundira mu nkompe, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ono ye kawumpuli Mukama gw’alikubisa amawanga gonna agaalwanyisa Yerusaalemi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyali balamu. Amaaso gabavundire mu biwanga, n’ennimi zibavundire mu kamwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na kino kye kibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga gonna agalwana ne Yerusaalemi: omubiri gwabwe gulivunda nga bakyayimiridde ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe galivundira mu bunnya bwago, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga agalumba Yerusaalemu, Mukama aligalwaza ekirwadde ekibi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyayimiridde. Amaaso gaabwe galivundira mu bituli byago, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)