Zechariah 14:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Omukama alireeta akatabanguko kanene mu bantu, buli omu alibaka omukono gwa munne ne balwanagana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo Mukama alireetera abantu ekyekango eky’amaanyi. Buli muntu alikwata omukono gwa munne nga balwanagana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ku lunaku luli okuyoogaana okunene okuva eri Mukama kuliba mu bo; era balikwata buli muntu ku mukono gwa munne, n'omukono gwe guliyimuka okukuba omukono gwa munne.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biseera ebyo, Mukama alibateekamu okutabuka era n'okutya okungi, buli omu n'akwata amuliraanye n'amulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku luli okuyoogaana okunene okuva eri Mukama kuliba mu bo; era balikwata buli muntu ku mukono gwa munne, n'omukono gwe guliyimuka okukuba omukono gwa munne.