Zechariah 14:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate abaliba bawonyeewo mu mawanga gonna agaalumba Yeruzaalemu, balyambukanga buli mwaka basinze Kabaka, Omukama w'Amagye, bakuze Embaga y'Ensiisira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama kabaka ow’Eggye era n’okukwatanga embaga ey’ensiisira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka buli muntu alisigalawo ku mawanga gonna agajja okulwana ne Yerusaalemi anaayambukanga buli mwaka okusinza Kabaka, Mukama w'eggye, n'okukwata embaga ey'ensiisira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo bonna abalisigalawo ku b'amawanga agazze okulwanyisa Yerusaalemu, banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama Nnannyinimagye era Kabaka, n'okukuza Embaga ey'Ensiisira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka buli muntu asigalawo ku mawanga gonna agajja okulwana ne Yerusaalemi anaayambukanga buli mwaka okusinza Kabaka, Mukama w'eggye, n'okukwata embaga ey'ensiisira.