Zechariah 14:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa walibulayo mu bika by'ensi ayambuka e Yeruzaalemu okusinza Kabaka Omukama w'Amagye, tebaliba na nkuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna mu nsi bw’ataagendenga Yerusaalemi kusinza Mukama Kabaka ow’Eggye, taafunenga nkuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka buli muntu mu bika byonna eby'ensi ataayambukenga Yerusaalemi kusinza Kabaka, Mukama w'eggye, enkuba terimutonnyera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggwanga eririgaana okwambuka e Yerusaalemu okusinza Mukama Nnannyinimagye era Kabaka, enkuba teritonnya mu lyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka buli muntu mu bika byonna eby'ensi ataayambukenga Yerusaalemi kusinza Kabaka, Mukama w'eggye, enkuba terimutonnyera.