Zechariah 14:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa ebika by'omu Misiri tebiryambuka ne bijja, tebaliba na nkuba. Omukama alibaleetera ekibonerezo ky'atadde ku mawanga ago agatayambuka kukuza Mbaga ya Nsiisira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamisiri bwe bataagendenga kwetabamu, tebaafunenga nkuba. Mukama anaabareeteranga kawumpuli, gwakubisa amawanga agatagenda kukwata mbaga ey’ensiisira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekika kya Misiri bwe kitaayambukenga bwe kitajjenga, nabo teribatonnyera; walibaawo ekibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga agataayambukenga okukwata embaga ey'ensiisira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamisiri bwe baligaana okukuza Embaga ey'Ensiisira, balikwatibwa ekirwadde kye kimu ekyo Mukama ky'alirwaza amawanga amalala agagaana okukuza Embaga ey'Ensiisira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekika kya Misiri bwe kitaayambukenga bwe kitajjenga, nabo teribatonnyera; walibaawo ekibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga agataayambukenga okukwata embaga ey'ensiisira.