Zechariah 14:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo kye kiriba ekibonerezo kya Misiri n'ekibonerezo ky'amawanga gonna agatayambuka kukuza Mbaga ya Nsiisira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo kye kinaabanga ekibonerezo kya Misiri n’amawanga gonna agataayambukenga kukwata mbaga ya nsiisira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo kiriba kibonerezo kya Misiri n'ekibonerezo eky'amawanga gonna agataayambukenga okukwata embaga ey'ensiisira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kye kibonerezo ekiriweebwa Misiri n'amawanga amalala gonna agataayambukenga kukuza Mbaga ey'Ensiisira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyo kiriba kibonerezo kya Misiri n'ekibonerezo eky'amawanga gonna agataayambukenga okukwata embaga ey'ebisiisira.