Zechariah 14:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukuŋŋaanyiza amawanga gonna mu Yeruzaalemu mu lutalo, ekibuga kirikwatibwa, ennyumba ne zinyagululwa, n'abakazi baligwagwawazibwa. Ekyokubiri eky'ekibuga kirigenda mu buwaŋŋanguse, kyokka abantu abalala abasigaddewo tebaliggyibwa mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna mu Yerusaalemi mu lutalo okukirwanyisa; ekibuga kiritwalibwa, enju zinyagibwe n’abakazi bakwatibwe. Kimu kyakubiri eky’ekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; naye abalala abalisigalawo tebaliggibwa mu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna ku Yerusaalemi okulwana; era ekibuga kirimenyebwa, n'ennyumba zirinyagibwa, n'abakazi balikwatibwa lwa maanyi: n'ekitundu ky'ekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; n'ekitundu eky'abantu ekirisigalawo tekiriggibwa mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alikuŋŋaanya wamu amawanga okulwanyisa Yerusaalemu. Ekibuga kiriwangulwa, ennyumba ne zinyagibwamu ebintu, n'abakazi ne bakwatibwa lwa mpaka. Abantu kimu kyakubiri balitwalibwa mu busibe, naye abalisigalawo tebaliggyibwa mu kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna ku Yerusaalemi okulwana era ekibuga kirimenyebwa, n'ennyumba zirinyagibwa, n'abakazi balikwatibwa lwa maanyi: n'ekitundu ky'ekibuga kiritwalibwa okufugibwa obuddu; n'ekitundu eky'abantu ekirisigalawo tekirimalibwawo mu kibuga.