Zechariah 14:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo ku bide by'embalaasi kuliwandiikibwako nti 'Kitukuvu ku lw'Omukama'; n'entamu mu Kiggwa ky'Omukama ziriba ng'ebibya ebitukuvu ebiri mu maaso g'omwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo ekigambo kino, “kitukuvu eri Mukama Katonda,” kinaawandikibwa ku bide by’embalaasi era n’entamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya Mukama zinaabeeranga ng’ebibya ebitukuvu mu maaso g’ekyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli ku ndege z'embalaasi kulibaako nti “OBUTUKUVU ERI MUKAMA;” era n'entamu mu nnyumba ya Mukama ziriba ng'ebibya mu maaso g'ekyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnaku ezo, wadde endege ezisibwa ku mbalaasi, ziriyolebwako nti: “Kyawuliddwa Mukama.” Entamu mu Ssinzizo ziriba ntukuvu ng'ebibya mu maaso g'alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli ku ndege z'embalaasi kulibaako nti OBUTUKUVU ERI MUKAMA; era n'entamu mu nnyumba ya Mukama ziriba ng'ebibya mu maaso g'ekyoto.