Zechariah 14:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli ntamu mu Yeruzaalemu ne mu Yuda eriba ntukuvu ku lw'Omukama w'Amagye. Bonna abalijja okutambira baliziddiranga ne bafumbira omwo. Ku olwo mu Kiggwa ky'Omukama temuliddamu kubeeramu musuubuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga Mukama ow’Eggye; n’abo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, buli ntamu mu Yerusaalemi ne mu Yuda eriba ntukuvu eri Mukama w'eggye; n'abo bonna abawaayo ssaddaaka balijja ne bazitoolangako ne bafumba omwo; era ku lunaku luli nga tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Entamu zonna mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna ziryawulirwa Mukama Nnannyinimagye, abantu abawaayo ebitambiro ne batoolanga ku zo ne bafumbamu ennyama ey'ekitambiro. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, tewaliba nate musuubuzi mu Ssinzizo lya Mukama Nnannyinimagye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, buli ntamu mu Yerusaalemi ne mu Yuda eriba ntukuvu eri Mukama w'eggye; n'abo bonna abawaayo ssaddaaka balijja ne bazitoolangako ne bafumba omwo: era ku lunaku luli nga tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama w'eggye.