Zechariah 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama agenda kuvaayo alwanyise amawanga ago, nga bw'alwana ku lunaku olw'olutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama alivaayo n’alwanyisa amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw’olutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama alitabaala alirwana n'amawanga galinga bwe yalwana ku lunaku olw'olutalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama aligenda n'alwanyisa amawanga ago, nga bwe yalwana mu ntalo ez'edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama alitabaala alirwana n'amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw'olutalo.