Zechariah 14:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiwonvu ky'ensozi kirijjula, kubanga ekiwonvu ky'ensozi kiriziba okutuukira ddala ku Azeli. Kiriziba nga bwe kyaziba olwa musisi mu mirembe gya Wuzziya kabaka wa Yuda. Awo Omukama Katonda wange alijja n'abatuukirivu bonna nga bali naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nammwe muliddukira mu kkubo ery’omu kiwonvu eky’olusozi lwange kubanga ekiwonvu kirisitulirwa waggulu era muddukanga nga bwe mwadduka musisi eyayita mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda. Awo Mukama Katonda wange alijja n’abatukuvu be bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe muliddukira mu kkubo ery'omu kiwonvu eky'ensozi zange; kubanga ekiwonvu eky'ensozi kirituuka ku Azeri: weewaawo, mulidduka nga bwe mwadduka okukankana kw'ensi okwali mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda; era Mukama Katonda wange alijja n'abatukuvu bonna wamu naawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulidduka nga muyita mu kiwonvu ekyo ekyawulamu olusozi. Mulidduka nga bajjajjammwe bwe badduka, ensi bwe yakankana mu mirembe gya Kabaka Wuzziya owa Buyudaaya. Mukama Katonda wange alijja ng'ali wamu n'abatukuvu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe muliddukira mu kkubo ery'omu kiwonvu eky'ensozi zange; kubanga ekiwonvu eky'ensozi kirituuka ku Azeri: weewaawo, mulidduka nga bwe mwadduka okukankana kw'ensi okwali mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda: era Mukama Katonda wange alijja n'abatukuvu bonna wamu naawe.