Zechariah 14:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Luliba lunaku lumu, Omukama kino akimanyi; tewaliba misana, tewaliba kiro, ne mu budde obw'akawungeezi ekitangaala kiribaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye luliba lunaku lwa njawulo, awataliba misana wadde kiro: olunaku olumanyiddwa Mukama. Obudde bwe buliwungeera walibaawo ekitangaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye walibeera olunaku lumu olumanyibwa Mukama; si musana so si kiro; naye olulituuka akawungeezi walibeera omusana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era tewaliba kizikiza. Bunaabanga misana bulijjo. Ne mu budde obw'ekiro, wanaabangawo ekitangaala ng'emisana. Mukama yekka ye amanyi ekyo we kiribeererawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye walibeera olunaku lumu olumanyibwa Mukama; si musana so si kiro: naye olulituuka akawungeezi walibeera omusana.