Zechariah 14:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo amazzi amalamu galikulukuta nga gava mu Yeruzaalemu, ekitundu ekimu nga kiraga mu nnyanja ey'ebuvanjuba ate ekitundu ekirala mu nnyanja ey'ebugwanjuba, mu kyeya ne mu bw'empewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi; agamu gagende mu nnyanja ey’Ebuvanjuba n’amalala mu nnyanja ey’Ebugwanjuba; mu kyeya ne mu ttoggo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ku lunaku luli amazzi amalamu galiva e Yerusaalemi; ekitundu kyago kirigenda mu nnyanja ey'ebuvanjuba n'ekitundu kyago mu nnyanja ey'ebugwanjuba; kiriba bwe kityo mu kyeya ne mu ttoggo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olwo bwe lulituuka, amazzi amalungi galikulukuta nga gava mu Yerusaalemu. Ekitundu kyago ekimu kirikulukutira mu nnyanja ey'ebuvanjuba, n'ekirala mu nnyanja ey'ebugwanjuba. Galikulukuta mu biseera eby'ekyeya n'eby'enkuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)