Zechariah 14:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama y'aliba kabaka ku nsi yonna. Ku olwo Omukama aliba omu, n'erinnya lye nga lye lyokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama alibeera kabaka ow’ensi zonna: ku lunaku olwo Mukama alibeera omu yekka n’erinnya lye liribeera erinnya lyokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama aliba kabaka w'ensi zonna; ku lunaku luli Mukama alibeera omu n'erinnya lye limu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo Mukama aliba Kabaka w'ensi zonna. Bonna gwe banaasinzanga era ye Mukama gwe banaamanyanga yekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama aliba kabaka w'ensi zonna: ku lunaku luli Mukama alibeera omu n'erinnya lye limu.