Zechariah 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abange, abange! Mudduke okuva mu nsi y'emambuka, Omukama y'agamba, kubanga nabasaasaanya mu nsonda ennya ez'eggulu, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yimba, osanyuke ggwe muwala wa Sayuuni, kubanga laba nzija era ndibeera wakati mu mmwe,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yimba, sanyuka, ggwe omuwala wa Sayuuni: kubanga, laba, njija nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Muyimbe olw'essanyu mmwe abantu b'omu Yerusaalemu, kubanga nzija, mbeerenga wamu nammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yimba, sanyuka, ggwe omuwala wa Sayuuni: kubanga, laba, njija nange naabeeranga wakati mu ggwe, bw'ayogera Mukama.