Zechariah 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Owange Siyoni, dduka, ggwe asula ewa muwala wa Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era amawanga mangi galyegatta ku Mukama ku lunaku olwo, era balibeera bantu bange, era nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeera nga Mukama ow’Eggye ye yantuma gy’oli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo amawanga mangi agalyegatta ne Mukama ne gafuuka bantu bange; nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeeranga nga Mukama w'eggye yantuma gy'oli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, ab'omu mawanga mangi balijja eri Mukama, ne bafuuka bantu be. Mukama Nnannyinimagye anaabeeranga wamu nammwe, era mmwe mulitegeera nga ye yantuma gye muli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olwo amawanga mangi agalyegatta ne Mukama ne gafuuka bantu bange: nange naabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeeranga nga Mukama w'eggye yantuma gy'oli.