Zechariah 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Oluvannyuma lw'Ekitiibwa okuntuma, ne kinsindika mu mawanga agaabanyagulula, anti abakwatako aba amukutte mu mmunye:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Yuda aliba mugabo gwa Mukama mu nsi entukuvu, era aliddamu okwerondera Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama alisikira Yuda, okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu, era alyeroboza nate Yerusaalemi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buyudaaya eriba ya Mukama mu ngeri ey'enjawulo, mu nsi ye entukuvu, era Yerusaalemu kiriddamu okuba ekibuga kyayo kye yeeroboza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alisikira Yuda, okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu, era alyeroboza nate Yerusaalemi.