Zechariah 2:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti: “Bino biki?” N'aŋŋamba nti: “Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda, Yisirayeli ne Yeruzaalemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mubuuza nti, “Ogenda wa?” Nanziramu nti, “Ŋŋenda kupima Yerusaalemi okulaba obuwanvu n’obugazi bwakyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne njogera nti, “Ogenda wa ggwe?” N'aŋŋamba nti, “ Okugera Yerusaalemi, ndabe obugazi bwakyo bwe buli n'obuwanvu bwakyo bwe buli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbuuza nti: “Ogenda wa?” N'anziramu nti: “Okugera Yerusaalemu, ndyoke ndabe bwe kyenkana obuwanvu n'obugazi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera nti Ogenda wa ggwe? N'aŋŋamba nti Okugera Yerusaalemi, ndabe obugazi bwakyo bwe buli n'obuwanvu bwakyo bwe buli.