Zechariah 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbuuza nti: “Ate bano bazze kukola ki?” N'anziramu nti: “Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda, wabulewo mu bo ayimusa omutwe; bano bazze kubatiisa basuule eri amayembe g'amawanga agaayimusiriza ensi ya Yuda amayembe gaago ne gamusaasaanya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amugamba nti, “Dduka ogambe omuvubuka oyo nti, ‘Yerusaalemi kijja kuba ekibuga ekitaliiko bbugwe olw’obungi bw’abantu n’ebisibo ebinaabeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amugamba nti, “Dduka, mugambe omuvubuka oyo nti, ‘Yerusaalemi kijja kuba kibuga ekitaliiko bbugwe olw'obungi bw'abantu n'ebisibo ebinaabeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'amugamba nti “Dduka ogambe omuvubuka oyo akutte omuguwa ogugera, nti Yerusaalemu kiribaamu abantu abatagya mu kigo, kubanga baliba bangi era n'amagana mangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amugamba nti Ddukanako; mugambe omuvubuka oyo nti Yerusaalemi kiribaamu abantu balifikka mu bbugwe kubanga abantu bangi n'eby'omu bisibo bingi wakati mu kyo.