Zechariah 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nsitula amaaso gange ne ndaba: awo waaliwo omusajja ng'akutte mu ngalo ze olukoba olupima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze ndiba bbugwe ow’omuliro, okukyebungulula enjuuyi zonna era nze ndiba ekitiibwa kyakyo mu kyo,’ bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nze ndiba ku kyo bbugwe ow'omuliro enjuyi zonna era ndiba kitiibwa wakati mu kyo, bw'ayogera Mukama.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti ye yennyini ye aliba ekigo eky'omuliro okwetooloola ekibuga, era nti anaakibeerangamu mu kitiibwa kye kyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nze ndiba ku kyo bbugwe ow'omuliro enjuyi zonna era ndiba kitiibwa wakati mu kyo, bw'ayogera Mukama.
Recommended Reading