Zechariah 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbuuza nti: “Ate ggwe ogenda wa?” N'aŋŋamba nti: “Kupima Yeruzaalemu ndabe obugazi bwakyo n'obuwanvu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale mudduke, mudduke ensi ey’obukiikakkono mugiveemu,” bw’ayogera Mukama, “kubanga mbasaasanyizza ng’empewo ennya ez’eggulu bwe ziri,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukale, mukale, mudduke muve mu nsi ey'obukiikakkono, bw'ayogera Mukama; kubanga ng'empewo ennya ez'eggulu bwe ziri, bwe mbasaasaanyizza, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba abantu be nti: “Musituke, musituke, muve mu nsi ey'omu bukiikakkono! Nabasaasaanyiza buli wantu, ng'empewo ennya ez'eggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukale, mukale, mudduke muve mu nsi ey'obukiika obwa kkbno, bw'ayogera Mukama; kubanga ng'empewo ennya ez'eggulu bwe ziri, bwe mbasaasaanyizza, bw'ayogera Mukama.