Zechariah 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amugamba nti: “Dduka, gamba omuvubuka oyo nti: ‘Yeruzaalemu kya kubeera kibuga okutali bbugwe olw'obungi bw'abantu abakirimu n'ebisolo ebikirimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “ Mukama nga bw’ampadde ekitiibwa n’antuma eri amawanga agaabanyaganga, anaabakwatako anaaba akutte ku mmunye ya liiso lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Oluvannyuma lw'ekitiibwa antumye eri amawanga agaabanyaga; kubanga abakomako mmwe akoma ku mmunye y'eriiso lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli akoona ku mmwe aba akoonye ku mmunye ya liiso lyange.” Mukama Nnannyinimagye, eyantuma olw'ekitiibwa kye, bino by'agamba amawanga agaanyaga abantu be. Agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oluvannyuma lw'ekitiibwa antumye eri amawanga agaabanyaga; kubanga abakomako mmwe akoma ku mmunyi y'eriiso lye.