Zechariah 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate nze nnaababeerera bbugwe ow'omuliro okukyetooloola, Omukama w'Amagye y'agamba, nze nnaaba Ekitiibwa mu makkati gaakyo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga laba ndyolesa omukono gwange gye bali, abaddu baabwe ne babanyaga. Olwo lwe mulimanya nga Mukama ow’Eggye ye yantuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga, laba, ndibakunkumulirako omukono gwange ne baba mwandu gw'abaddu baabwe; nammwe munaamanya nga Mukama w'eggye ye yantuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama yennyini ye alibalwanyisa mmwe, era abantu abaali abaddu bammwe, balibanyaga mmwe.” Ekyo bwe kirituukirira, mulimanya nga Mukama Nnannyinimagye ye yantuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, ndibakunkumulirako omukono gwange ne baba mwandu gw'abaddu baabwe; nammwe munaamanya nga Mukama w'eggye ye yantuma.