Zechariah 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'andaga Yoswa kabona omukulu ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Katonda, ne Sitaani ng'ayimiridde ku ddyo we okumuwawaabira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’anjolesa Yoswa, kabona asinga obukulu, ng’ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng’ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo okumulumiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'anjolesa Yosuwa, kabona asinga obukulu, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng'ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo abe omulabe we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'andaga Yoswa Ssaabakabona, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama. Ku ludda lwa Yoswa olwa ddyo waali wayimiriddewo Sitaani, nga yeetegese okulumiriza Yoswa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'anjolesa Yosuwa, kabona asinga obukulu, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng'ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo abe omulabe we.