Zechariah 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwo, Omukama w'Amagye y'agamba, omu aliyita munne ne batuula wansi w'omuzabbibu ne wansi w'omukunyu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ku lunaku luli, buli omu ku mmwe, aliyita muliraanwa we okutuulako wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye, munaayitanga buli muntu munne okujja wansi w'omuzabbibu ne wansi w'omutiini.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva ku lunaku olwo, buli omu mu mmwe anaayitanga munne okujja basanyukireko wamu, nga bali wansi w'omuzabbibu oba wansi w'omutiini.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye munaayitanga buli muntu munne okujja wansi w'omuzabbibu ne wansi w'omutiini.