Zechariah 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Sitaani nti: “Omukama akukomeko, ggwe Sitaani! Omukama eyalonda Yeruzaalemu akukomeko! Ono si kye kiti ekyaka ekiggyiddwa mu muliro?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Setaani nti, “ Mukama akunenye ggwe Setaani, weewaawo Mukama eyeerondedde Yerusaalemi akunenye! Omusajja ono si kisiki ekyaka ekigibbwa mu muliro?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Setaani nti, “Mukama akunenye, ggwe Setaani; weewaawo, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemi akunenye, oyo si kisiriiza ekikwakkulibwa mu muliro?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama n'agamba Sitaani nti: “Mukama akunenye, ggwe Sitaani! Ddala, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemu akunenye! Omuntu ono ali ng'omumuli oguggyiddwa mu muliro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Setaani nti Mukama akunenye, ggwe Setaani; weewaawo, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemi akunenye: oyo si kisiriiza ekikwakkulibwa mu muliro?