Zechariah 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika n'agamba abaali bamuyimiridde mu maaso nti: “Mumwambulemu ebigoye ebijama.” N'agamba Yoswa nti: “Nzuuno kati nkuggyeko ebibi byo, ŋŋenda okukwambaza emivuluya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika n’agamba abaali bayimiridde mu maaso ge nti, “Mumwambulemu ebyambalo bye ebijjudde ekko.” N’agamba Yoswa nti, “Laba nkuggyeeko ekibi kyo, era nnaakwambaza ebyambalo eby’omuwendo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addamu n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge, n'ayogera nti. “Mumwambulemu engoye ez'ekko.” N'agamba Yosuwa nti, “Laba, nkuggyeeko obubi bwo; nange nnaakwambaza ebyambalo eby'omuwendo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge nti: “Mumwambulemu ebyambalo ebijama.” Awo n'agamba Yoswa nti: “Nkuggyeeko ekibi kyo, era nja kukwambaza ebyambalo ebyekitiibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addamu n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge, n'ayogera nti Mumwambuleko engoye ez'ekko. N'agamba Yosuwa nti Laba, nkuyisizzaako obubi bwo; nange naakwambaza ebyambalo ebitenkanika.