Zechariah 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Mumuteekeko ettambaala eritukula.” Ne bamutikkira ettambaala eritukula, ne bamwambaza n'ebyambalo, ne malayika w'Omukama ng'ayimiridde awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne njogera nti, “Mumusibe ekiremba ekitukula ku mutwe gwe.” Awo ne bamusiba ekiremba ekitukula ku mutwe, ne bamwambaza n’engoye, nga malayika wa Mukama ayimiridde awo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne njogera nti, “ Bamusibe ku mutwe gwe ekiremba ekitukula. Awo ne bamusiba ku mutwe gwe ekiremba ekitukula ne bamwambaza engoye;” malayika wa Mukama n'ayimirira awo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alagira nti: “Mumutikkire ku mutwe ekiremba ekitukula.” Awo ne bamutikkira ku mutwe ekiremba ekitukula, era ne bamwambaza ebyambalo nga malayika wa Mukama ayimiridde awo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera nti Bamutikkire ku mutwe gwe ekiremba ekitukula. Awo ne bamutikkira ku mutwe gwe ekiremba ekitukula ne bamwambaza engoye malayika wa Mukama n'ayimirira awo.