Zechariah 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: ‘Bw'olitambulira mu makubo gange n'otuukiriza bye nkuutira, olwo oliramula ennyumba yange, n'okuuma empya zange; ndikuwa ebifo mu abo abayimiridde awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Bw’onootambuliranga mu makubo gange, era noonywezanga bye nkukuutira, kale, onoofuganga ennyumba yange era onoolamulanga mu mbuga zange, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Bw'onootambuliranga mu makubo gange, era bye nkukuutira bw'onoobinywezanga, kale naawe ennyumba yange onoogisaliranga omusango, n'empya zange onoozikuumanga, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bw'onookwatanga amateeka gange, era n'otuukirizanga bye nkulagira okukola, olwo ojja kwongera okulabiriranga Essinzizo lyange n'empya zaalyo, era nnaakukkirizanga okusembera we ndi mu ngeri ye emu nga bano abayimiridde wano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Bw'onootambuliranga mu makubo gange, era bye nkuutira bw'onoobinywezanga, kale naawe ennyumba yange onoogisaliranga omusango, n'empya zange onoozikuumanga, era ndikuwa ekifo eky'okusembereramu mu banno abayimiridde.