Zechariah 3:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wulira ggwe Yoswa kabona omukulu ne banno abakutudde awo mu maaso, abo akabonero k'ebinajja, ŋŋenda kuleeta omuweereza wange 'Ttabi'.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kale wulira, Yoswa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go, abantu kw’otegeerera eby’omu maaso, laba ndireeta omuweereza wange, ye Ttabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, wulira, Yosuwa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go; kubanga be bantu ab'akabonero bano; kubanga, laba, ndireeta omuddu wange ayitibwa Ttabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ggwe Yoswa Ssaabakabona, wulira. Era nammwe bakabona banne muwulire: mmwe kabonero ak'ebiseera eby'omu maaso ebirungi. Ndireeta omuweereza wange ayitibwa Ttabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, wulira, Yosuwa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go kubanga be bantu ab'akabonero bano; kubanga, laba, ndireeta omuddu wange Ettabi.