Zechariah 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba ejjinja liirino nditadde awo mu maaso ga Yoswa. Ku jjinja eryo erimu kuliko amaaso musanvu; nzija kwolako ekiwandiiko, Omukama w'Amagye y'agamba, era nzija kuggyawo ekibi ky'ensi eno mu lunaku lumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga laba, ku jjinja lye ntadde mu maaso ga Yoswa, ku jjinja erimu eririna amaaso omusanvu, laba nditeekako ebiwandiiko,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. ‘Mu lunaku lumu ndiggyawo ekibi ky’ensi eno.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, ejjinja lye nteese mu maaso ga Yosuwa; ku jjinja limu kuliko amaaso musanvu; laba, ndyolako enjola zaalyo, bw'ayogera Mukama w'eggye; ndiggyamu obubi mu nsi eyo ku lunaku lumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laba nteeka mu maaso ga Yoswa ejjinja limu nga lya njuyi musanvu. Ku lyo nja kwolako ekiwandiiko, era ndiggyawo ekibi ky'ensi eno mu lunaku lumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga laba, ejjinja lye nteese mu maaso ga Yosuwa; ku jjinja limu kuliko amaaso musanvu; laba, ndyolako enjola zaalyo, bw'ayogera Mukama w'eggye; ndiggyamu obubi mu nsi eyo ku lunaku lumu.