Zechariah 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani anyooma olunaku olw'ekintu ekitono? Abantu balisanyuka, bwe baliraba bbirigi ey'essasi mu ngalo za Zerubabbeli. Amaaso ago omusanvu, ge maaso g'Omukama agayitaayita mu nsi wonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ani anyooma olunaku olw’ebintu ebitono? Abantu balijaguza, bwe baliraba ejjinja erigera mu mukono gwa Zerubbaberi. Gano omusanvu ge maaso ga Katonda agayitaayita mu nsi yonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ye ani anyoomye olunaku olw'ebitono? Kubanga balisanyuka era baliraba ejjinja erigera mu ngalo za Zerubbaberi, bano omusanvu, ge maaso ga Mukama; agayitaayita mu nsi zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ababadde baterebuse olw'okulaba ng'ekikolebwa kitono, balisanyuka bwe baliraba nga Zerubabbeeli azimba Essinzizo.” Malayika oyo era n'aŋŋamba nti: “Ettaala omusanvu ge maaso ga Mukama, agalaba wonna ku nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ye ani anyoomye olunaku olw'ebitono? Kubanga balisanyuka era baliraba ejjinja erigera mu ngalo za Zerubbaberi, bano omusanvu, ge maaso ga Mukama; gaddukanaddukana mu nsi zonna.