Zechariah 4:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mmubuuza ogwokubiri nti: “Amatabi gano abiri ag'oliva gaaki agaliraanye emidumu ebiri egya zaabu omuyita omuzigo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nnyongera okumubuuza nti, “Gano amatabi abiri ag’emizeeyituuni agaliraanye emidumu gya zaabu ge gayitamu amafuta aga zaabu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne nnyongera okumubuuza omulundi ogwokubiri nti, “Amatabi gano abiri ag'emizeyituuni agali ku mabbali g'emimwa ebiri egya zaabu agayitamu amafuta aga zaabu gategeeza ki?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era amatabi gano abiri ag'emizayiti agali ku mabbali g'enseke ebbiri eza zaabu, omuyita omuzigo ogw'emizayiti, gategeeza ki?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne nziramu omulundi ogw'okubiri ne mmugamba nti Amatabi gano abiri maki ag'emizeyituuni agali ku mabbali g'emimwa ebiri egya zaabu ageemalamu gokka amafuta aga zaabu?