Zechariah 4:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addamu nti: “Egyo togimanyi?” Ne ŋŋamba nti: “Nedda, mukama wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’anziramu nti, “Tobimanyi?” Ne njogera nti, “Nedda, mukama wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'anziramu nti, “Tomanyi ago kye gategeeza?” Ne nziramu nti, “Nedda, mukama wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ambuuza nti: “Tomanyi kye gategeeza?” Ne nziramu nti: “Nedda, mukama wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'anziramu n'ayogera nti Tomanyi ago bwe gali? Ne njogera nti Nedda, mukama wange.