Zechariah 4:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kuŋŋamba nti: “Abo be basiige ababiri abaliwo okuweereza Omukama w'ensi yonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’addamu nti, “Abo be babiri abaafukibwako amafuta abaweereza Mukama ow’ensi yonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'addamu nti, “Ago be baana babiri abaafukibwako amafuta abayimirira awali Mukama w'ensi zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba nti: “Amatabi ago be bantu ababiri, Mukama w'ensi zonna be yalonda, n'abafukako omuzigo, okumuweerezanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayogera nti Ago be baana babiri ab'amafuta abayimirira awali Mukama w'ensi zonna.