Zechariah 4:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ambuuza nti: “Olaba ki?” Ne mmuddamu nti: “Ndaba ekikondo ky'ettawaaza, kyonna nga kya zaabu, waggulu ku kyo nga kuliko ekibya, n'ettawaaza zaakyo omusanvu nga ziri kuli, n'emikonda musanvu ku ttawaaza eziri ku mutwe gw'ekikondo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?” Ne muddamu nti, “Ndaba ekikondo ky’ettaala nga kyonna kya zaabu, nga waggulu kiriko n’akabakuli kaakwo, n’ettaala zaakwo omusanvu, nga buli ttaala eriko omumwa gwayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Olabye ki?” Ne njogera nti, “Ndaba ekikondo eky'ettaala nga kyonna kya zaabu, nga waggulu waakyo kuliko akabakuli, n'ettaala zaakyo omusanvu, nga buli ttaala eriko omumwa gwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aŋŋamba nti: “Olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ndaba ekikondo ky'ettaala ekya zaabu, n'ekibya ekiri waggulu ku kyo. Ku kikondo ekyo kuliko ettaala musanvu, nga buli ttaala eriko entambi musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Olabye ki Ne njogera nti Ntunudde, era, laba, ekikondo eky'ettabaaza ekya zaabu kyonna n'ekibya kyakyo nga kiri waggulu ku kyo n'ettabaaza zaakyo omusanvu; ettabaza eziri waggulu waakyo, buli ttabaaza ng'eriko emimiro musanvu: