Zechariah 4:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika eyali ayogera nange n'annyanukula nti: “Bino tobimanyi?” Ne mugamba nti: “Nedda, mukama wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika eyali ayogera nange n’addamu n’aŋŋamba nti, “Tobimanyi?” Ne muddamu nti, “Nedda mukama wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika eyali ayogera nange n'addamu n'aŋŋamba nti, “Tomanyi ebyo bwe biri?” Ne muddamu nti, “Nedda, mukama wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika oyo n'ambuuza nti: “Tomanyi ebyo kye bitegeeza?” Ne nziramu nti: “Nedda, mukama wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika eyali ayogera nange n'addamu n'aŋŋamba nti Tomanyi ebyo bwe biri? Ne njogera nti Nedda, mukama wange.